Job 41

Amaanyi ga Lukwata

1 a“Oyinza okusikayo lukwata n’eddobo,
oba okusiba olulimi lwayo n’omuguwa?
2 bOyinza okuyingiza omuguwa mu nnyindo zaayo,
oba okuwummula oluba lwayo n’eddobo?
3Eneekwegayirira ng’ekusaba nti, ogikwatirwe ekisa?
Eneeyogera naawe mu bigambo ebigonvu?
4 cEneekola naawe endagaano
ogitwale ekuweereze obulamu bwayo bwonna?
5Onoozannya nayo nga bw’ozannya n’akanyonyi,
oba okugisiba n’olukoba ng’agisibira bawala bo?
6Abasuubuzi banaagiramuza,
oba banaagibala ng’ekyamaguzi?
7Oyinza okuvuba eddiba lyayo n’olijjuza amalobo,
oba omutwe okugufumita n’amafumu agafumita ebyennyanja?
8Bw’oligissaako engalo zo ekirivaamu tolikyerabira,
toliddayo kukikola!
9Essuubi lyonna ery’okugiwangula ffu,
okugirabako obulabi kimalamu amaanyi.
10 dTeri n’omu mukambwe nnyo asobola kugyaŋŋanga.
Kale, ani oyo asobola okuyimirira mu maaso gange?
11 eAni alina kye yali ampoze musasule?
Byonna ebiri wansi w’eggulu byange.

12“Ku bikwata ku mikono n’ebigere byayo siisirike,
amaanyi gaayo n’ekikula kyayo bya ssimbo.
13Ani ayinza okugiggyako eddiba lyayo ery’oku ngulu?
Ani ayinza okuyuza ekizibaawo kyayo eky’amaliba abiri?
14Ani ayinza okuggula enzigi z’akamwa kaayo?
Amannyo gaayo geetooloddwa entiisa.
15Omugongo gwe gujjudde enkalala z’engabo
ezisibiddwa okumukumu.
16Zonna zisibaganye nga tewali mpewo weeyita.
17Zakwatagana,
ziri ku zinnaazo era tezisobola kwawulibwa.
18 fBw’eyasimula, ebimyanso bijja,
n’amaaso gaayo gali nga enjuba ng’egwa.
19Mu kamwa kaayo muvaamu ebiriro ebyaka.
Kavaamu ensasi ez’omuliro.
20Mu nnyindo zaayo muvaamu omukka
ng’ogwentamu eyeesera eri ku muliro ogw’emmuli ezaaka.
21 gOmukka oguva mu nnyindo zaayo
gukoleeza Amanda.
22Mu nsingo yaayo mulimu amaanyi,
n’entiisa eri mu maaso gaayo.
23Emiwula gy’ennyama yaayo gyegasse;
gikutte nnyo era tegisobola kwenyeenya.
24Ekifuba kyayo kigumu ng’olwazi,
kigumu ng’olubengo.
25Bwesituka ab’amaanyi batya.
Badduka olw’okubwatuka kwayo.
26Ekitala bwe kigituukako tekirina kye kiyinza kumukolako,
oba ffumu, oba omuwunda wadde akasaale akasongovu.
27Emenya ebyuma gy’obeera nti ekutulakutula bisasiro,
ebyo ebikomo ebimenyaamenya ng’emiti emivundu.
28Akasaale tekayinza kugiddusa,
amayinja ag’envumuulo gaba nga biti gy’eri.
29Embukuuli nayo eri ng’ebisusunku gy’eri.
Esekerera amafumu agakasukibwa.
30 hAmagalagamba g’oku lubuto lwayo gali ng’engyo z’ensuwa.
Bwe yeekulula mu bitosi ebeera ng’ekyuma ekiwuula.
31Ereetera obuziba bw’ennyanja okuba ng’entamu eyeesera.
Ennyanja n’eba ng’entamu y’omuzigo ogufumbibwa.
32Mu mazzi mw’eyise, erekamu ekkubo ery’amayengo ameeru;
ne kireeta n’ekirowoozo nti obuziba bulina envi.
33 iTewali kigyenkana ku nsi;
ekitonde ekitatya.
34 jEnyooma buli kisolo.
Ye kabaka w’abo bonna ab’amalala.”
Copyright information for LugEEEE